Hebrews 13

1 aMweyongere okwagalananga ng’abooluganda. 2 bTemwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde. 3 cMujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu n’abo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.

4 dObufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga. 5 eMwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,

“Sirikuleka
era sirikwabulira n’akatono.”
6Kyetuva twogera n’obuvumu nti,

“Mukama ye mubeezi wange, siityenga,
omuntu ayinza kunkola ki?”
7 fMujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza. 8 gYesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe. 9 hTemusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya. 10 iTulina ekyoto, abaweereza mu weema ey’Okukuŋŋaanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako.

11 jKabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira. 12 kNoolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era n’afiira ebweru w’ekibuga alyoke atutukuze n’omusaayi gwe ye. 13 lKale naffe tufulume tulage gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye. 14 mKubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.

15 nKale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye. 16 oTemwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa. 17 pMuwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.

18 qMutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu. 19 rEra okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli.

20 sKale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe, 21 tabawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

22 uKaakano mbakuutira abooluganda, mugumiikirizenga ebibabuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.

23 vMbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yateebwa, bw’alijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba.

24 wMulamuse abakulembeze bammwe era n’abakkiriza bonna.

Ab’omu Italiya babalamusizza.

25Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

Copyright information for LugEEEE